1
Zabbuli 62:8
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Mumwesige ye mu biro byonna, mmwe abantu; Mufuke omutima gwammwe mu maaso ge: Katonda kye kiddukiro gye tuli. (Seera)
Compare
Explore Zabbuli 62:8
2
Zabbuli 62:5
Emmeeme yange, lindiriranga Katonda yekka; Kubanga oyo okusuubira kwange mwe kuva.
Explore Zabbuli 62:5
3
Zabbuli 62:6
Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange: Oyo kye kigo kyange ekiwanvu: sirisagaasagana.
Explore Zabbuli 62:6
4
Zabbuli 62:1
Emmeeme yange erindirira Katonda yekka: Oyo obulokozi bwange mwe buva.
Explore Zabbuli 62:1
5
Zabbuli 62:2
Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange: Kye kigo kyange ekiwanvu; sirisagaasagana nnyo.
Explore Zabbuli 62:2
6
Zabbuli 62:7
Awali Katonda we wali obulokozi bwange n'ekitiibwa kyange: Ejjinja ery'amaanyi gange n'ekiddukiro kyange biri mu Katonda.
Explore Zabbuli 62:7