1
Matayo 8:26
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
N'abagamba nti Kiki ekibatiisa, abalina okukkiriza okutono? N'alyoka agolokoka, n'akoma ku mpewo n'ennyanja; n'eteeka nnyo.
Compare
Explore Matayo 8:26
2
Matayo 8:8
Omwami w'ekitongole Omuruumi n'addamu n'agamba nti Mukama wange, sisaanira ggwe okuyingira wansi w'akasolya kange: naye yogera kigambo bugambo, mulenzi wange anaawona.
Explore Matayo 8:8
3
Matayo 8:10
Naye Yesu bwe yawulira, ne yeewuunya, n'agamba abaayita naye nti Ddala mbagamba nti Sinnalaba kukkiriza kunene nga kuno, newakubadde mu Isiraeri.
Explore Matayo 8:10
4
Matayo 8:13
Yesu n'agamba omwami w'ekitongole Omuruumi nti Kale genda; nga bw'okkirizza, kibeere gy'oli bwe kityo. Omulenzi n'awonera mu kiseera ekyo.
Explore Matayo 8:13
5
Matayo 8:27
Abantu ne beewuunya, nga bagamba nti Muntu ki ono, empewo n'ennyanja okumuwulira?
Explore Matayo 8:27