1
Matayo 7:7
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo
Compare
Explore Matayo 7:7
2
Matayo 7:8
kubanga buli muntu asaba aweebwa; anoonya alaba; eyeeyanjula aliggulirwawo.
Explore Matayo 7:8
3
Matayo 7:24
Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'amala abikola, kyaliva afaananyizibwa n'omusajja ow'amagezi eyazimba enju ye ku lwazi
Explore Matayo 7:24
4
Matayo 7:12
Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo: kubanga ekyo ge mateeka ne bannabbi.
Explore Matayo 7:12
5
Matayo 7:14
Kubanga omulyango mufunda n'ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n'abo abaliraba batono.
Explore Matayo 7:14
6
Matayo 7:13
Muyingire mu mulyango omufunda: kubanga omulyango mugazi, n'ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, n'abo abayitamu bangi.
Explore Matayo 7:13
7
Matayo 7:11
Kale mmwe, ababi, nga bwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa ebirungi abamusaba?
Explore Matayo 7:11
8
Matayo 7:1-2
Temusalanga musango, muleme okusalirwa. Kubanga omusango gwe musala gulibasalirwa nammwe: era ekigera kye mugereramu, ekyo kye muligererwa nammwe.
Explore Matayo 7:1-2
9
Matayo 7:26
Na buli muntu awulira ebigambo byange ebyo n'atabikola, alifaananyizibwa n'omusajja atalina magezi, eyazimba enju ye ku musenyu
Explore Matayo 7:26
10
Matayo 7:3-4
Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye n'otofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? Oba olimugamba otya muganda wo nti Leka nkuggyeko akantu akali ku liiso lyo; naye laba, enjaliiro ekyali ku liiso lyo ggwe?
Explore Matayo 7:3-4
11
Matayo 7:15-16
Mwekuume bannabbi ab'obulimba, abajjira mu byambalo by'endiga gye muli, naye munda gy'emisege egisikula. Mulibategeerera ku bibala byabwe. Abantu banoga batya ezabbibu ku busaana, oba ettiini ku mwennyango?
Explore Matayo 7:15-16
12
Matayo 7:17
Bwe kityo buli muti omulungi gubala ebibala birungi; naye omuti omubi gubala ebibala bibi.
Explore Matayo 7:17
13
Matayo 7:18
Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, so n'omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi.
Explore Matayo 7:18
14
Matayo 7:19
Buli muti ogutabala kibala kirungi bagutema bagusuula mu muliro.
Explore Matayo 7:19