1
Matayo 9:37-38
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
N'alyoka agamba abayigirizwa be nti Eby'okukungula bye bingi, naye abakozi be batono. Kale musabe Omwami w'eby'okukungula, asindike abakozi mu by'okukungula bye.
Compare
Explore Matayo 9:37-38
2
Matayo 9:13
Naye mugende muyige amakulu g'ekigambo kino nti Njagala kisa, so si ssaddaaka: kubanga sajja kuyita batuukirivu, wabula abantu ababi.
Explore Matayo 9:13
3
Matayo 9:36
Naye bwe yalaba ebibiina, n'abisaasira, kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng'endiga ezitalina musumba.
Explore Matayo 9:36
4
Matayo 9:12
Naye bwe yawulira, n'agamba nti Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde.
Explore Matayo 9:12
5
Matayo 9:35
Yesu n'ayitayita mu bibuga byonna, n'embuga zonna, ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, ng'awonya endwadde zonna n'obunafu bwonna.
Explore Matayo 9:35