1
Matayo 21:22
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Ne byonna byonna bye munaayagalanga nga musaba, nga mukkirizza, munaabiweebwanga.
Compare
Explore Matayo 21:22
2
Matayo 21:21
Yesu n'addamu n'abagamba nti Mazima mbagamba nti Bwe munaabanga n'okukkiriza, nga temubuusabuusa, temuukolenga kino kyokka eky'omutiini, naye bwe muligamba olusozi luno nti Situlibwa osuulibwe mu nnyanja, kirikolebwa.
Explore Matayo 21:21
3
Matayo 21:9
Ebibiina ebyamukulembera, n'ebyo ebyava ennyuma, ne byogerera waggulu, ne bigamba nti Ozaana eri omwana wa Dawudi: Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama: Ozaana waggulu mu ggulu.
Explore Matayo 21:9
4
Matayo 21:13
n'abagamba nti Kyawandiikibwa nti Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu: naye mmwe mugifuula mpuku ya banyazi.
Explore Matayo 21:13
5
Matayo 21:5
Mubuulire muwala wa Sayuuni nti Laba, Kabaka wo ajja gy'oli. Omuteefu, nga yeebagadde endogoyi, N'akayana omwana gw'endogoyi.
Explore Matayo 21:5
6
Matayo 21:42
Yesu n'abagamba nti Temusomangako mu byawandiikibwa nti Ejjinja abazimbi lye baagaana Lye lyafuuka omutwe gw'ensonda: Kino kyava eri Mukama, Era kya kitalo mu maaso gaffe?
Explore Matayo 21:42
7
Matayo 21:43
Kyenva mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bulibaggibwako mmwe, buliweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo. [
Explore Matayo 21:43