1
Eby'Abaleevi 19:18
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Towalananga ggwanga, so tobanga na nge yonna eri abaana b'abantu bo, naye onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka: nze Mukama.
Compare
Explore Eby'Abaleevi 19:18
2
Eby'Abaleevi 19:28
Temwesalanga ku mubiri gwammwe olw'abafu, so temwesalangako bya buyonjo byonna: nze Mukama.
Explore Eby'Abaleevi 19:28
3
Eby'Abaleevi 19:2
Yogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Munaabanga batukuvu: kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.
Explore Eby'Abaleevi 19:2
4
Eby'Abaleevi 19:17
Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo: tolemanga kunenya muliraanwa wo, oleme okubaako ekibi ku lulwe.
Explore Eby'Abaleevi 19:17
5
Eby'Abaleevi 19:31
Temukyukiranga abo abasamira emizimu, newakubadde abalogo; temubanoonyanga, okwonooneka olw'abo: nze Mukama Katonda wammwe.
Explore Eby'Abaleevi 19:31
6
Eby'Abaleevi 19:16
Tobanga wa nnimi ng'otambulatambula mu bantu bo; so toyimiriranga kulumba musaayi gwa muliraanwa wo: nze Mukama.
Explore Eby'Abaleevi 19:16