1
Yoweeri 2:12
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Era naye ne kaakano munkyukire n'omutima gwammwe gwonna, n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okuwuubaala
Compare
Explore Yoweeri 2:12
2
Yoweeri 2:28
Awo olulituuka oluvannyuma ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula, abakadde bammwe baliroota ebirooto, abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa
Explore Yoweeri 2:28
3
Yoweeri 2:13
era muyuze omutima gwammwe so si byambalo byammwe, mukyukire Mukama Katonda wammwe: kubanga wa kisa, era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa nnyo ekisa, era yejjusa obutaleeta bubi.
Explore Yoweeri 2:13
4
Yoweeri 2:32
Awo olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama alirokoka: kubanga ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abo abaliwona, nga Mukama bwe yayogera, ne mu kitundu ekirifikkawo mulibaamu abo Mukama b'aliyita.
Explore Yoweeri 2:32
5
Yoweeri 2:31
Enjuba erifuuka kizikiza, n'omwezi okuba omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunnaba kujja.
Explore Yoweeri 2:31