Enjuba n'omwezi biriko ekizikiza, n'emmunyeenye zirekayo okwaka kwazo. Awo Mukama aliwuluguma ng'ayima e Sayuuni, alireeta eddoboozi lye ng'ayima e Yerusaalemi; n'eggulu n'ensi birikankana: naye Mukama aliba buddukiro eri abantu be era ekigo eri abaana ba Isiraeri.