Awo olwatuuka mu nnaku ziri, ng'amaze okukula Musa, n'abajjira baganda be n'alaba emigugu gyabwe: n'alaba omuntu Omumisiri ng'akuba omuntu Omwebbulaniya, ow'omu baganda be. N'amagamaga eruuyi n'eruuyi n'alaba nga tewali muntu, n'alyoka amukuba Omumisiri, n'amukweka mu musenyu.