Mukama n'ayogera nti Ndabidde ddala okubonaabona okw'abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku lw'abo ababakoza; kubanga mmanyi ennaku zaabwe; era nzise okubawonya mu mukono ogw'Abamisiri, okubalinnyisa okuva mu nsi eri bayingire mu nsi ennungi engazi, mu nsi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki; mu kifo eky'omu Kanani, n'eky'omu Kiiti, n'eky'omu Amoli, n'eky'omu Perizi, n'eky'omu Kiivi, n'eky'omu Yebusi.