Katonda wa Isiraeri yayogera,
Lwazi lwa Isiraeri yaŋŋamba:
Omuntu afuga abantu n'obutuukirivu,
Afuga ng'atya Katonda,
Aliba ng'omusana gw'enkya, enjuba bw'evaayo,
Obudde obw'enkya obutaliiko bire;
Omuddo omugonvu (bwe guva) mu ttaka,
Olw'okwaka okutangalijja enkuba ng'ekedde.