2 Samwiri 23:3-4
2 Samwiri 23:3-4 LUG68
Katonda wa Isiraeri yayogera, Lwazi lwa Isiraeri yaŋŋamba: Omuntu afuga abantu n'obutuukirivu, Afuga ng'atya Katonda, Aliba ng'omusana gw'enkya, enjuba bw'evaayo, Obudde obw'enkya obutaliiko bire; Omuddo omugonvu (bwe guva) mu ttaka, Olw'okwaka okutangalijja enkuba ng'ekedde.





