1
2 Bassekabaka 6:17
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Erisa n'asaba n'ayogera nti Mukama wange, nkwegayiridde, omuzibule amaaso ge alabe. Awo Mukama n'azibula amaaso g'omulenzi; n'alaba: awo, laba, olusozi nga lujjudde embalaasi n'amagaali ag'omuliro ageetoolodde Erisa.
Compare
Explore 2 Bassekabaka 6:17
2
2 Bassekabaka 6:16
N'addamu nti Totya: kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.
Explore 2 Bassekabaka 6:16
3
2 Bassekabaka 6:15
Awo omuddu w'omusajja wa Katonda bwe yagolokoka enkya n'afuluma, laba, eggye n'embalaasi n'amagaali nga bazingizizza ekibuga. Omuddu we n'amugamba nti Zitusanze, mukama wange! tunaakola tutya?
Explore 2 Bassekabaka 6:15
4
2 Bassekabaka 6:18
Awo bwe baaserengeta gy'ali Erisa n'asaba Mukama n'ayogera nti Nkwegayiridde, ziba amaaso g'abantu bano. N'aziba amaaso gaabwe ng'ekigambo kya Erisa bwe kyali.
Explore 2 Bassekabaka 6:18
5
2 Bassekabaka 6:6
Omusajja wa Katonda n'ayogera nti Egudde wa? N'amulaga ekifo. N'atema omuti n'agusuulawo n'abbulukusa ekyuma.
Explore 2 Bassekabaka 6:6
6
2 Bassekabaka 6:5
Naye omu bwe yali atema omuti, embazzi n'egwa mu mazzi: n'akaaba n'ayogera nti Zinsanze, mukama wange! kubanga ebadde nneeyazike.
Explore 2 Bassekabaka 6:5
7
2 Bassekabaka 6:7
N'ayogera nti Gironde. N'agolola omukono gwe n'agikwata.
Explore 2 Bassekabaka 6:7