1
2 Bassekabaka 5:1
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Awo Naamani omukulu w'eggye lya kabaka w'e Busuuli yali musajja mukulu eri mukama we era wa kitiibwa, kubanga ku bw'oyo Mukama yali awadde Obusuuli okuwangula: era yali musajja wa maanyi muzira, naye yali mugenge.
Compare
Explore 2 Bassekabaka 5:1
2
2 Bassekabaka 5:10
Erisa n'amutumira omubaka ng'ayogera nti Genda onaabe mu Yoludaani emirundi musanvu, kale omubiri gwo gulidda gy'oli, naawe oliba mulongoofu.
Explore 2 Bassekabaka 5:10
3
2 Bassekabaka 5:14
Awo n'aserengeta ne yennyika mu Yoludaani emirundi musanvu ng'ekigambo bwe kyali eky'omusajja wa Katonda: omubiri gwe ne gudda nate ng'omubiri gw'omwana omuto, n'aba mulongoofu.
Explore 2 Bassekabaka 5:14
4
2 Bassekabaka 5:11
Naye Naamani n'asunguwala, ne yeddirayo n'ayogera nti Laba, mbadde ŋŋamba nti taaleme kufuluma gye ndi n'ayimirira n'asaba erinnya lya Mukama Katonda we n'ayisayisa engalo awali ekifo, n'awonya omugenge.
Explore 2 Bassekabaka 5:11
5
2 Bassekabaka 5:13
Awo abaddu be ne basembera ne boogera naye nti Kitange, nnabbi singa akulagidde okukola ekigambo ekikulu, tewandikikoze? kale toosinge nnyo bw'akugambye nti Naaba obe mulongoofu?
Explore 2 Bassekabaka 5:13
6
2 Bassekabaka 5:3
Awo n'agamba mugole we nti Singa mukama wange ali ne nnabbi ali mu Samaliya! kale yandiwonye ebigenge bye.
Explore 2 Bassekabaka 5:3