1
2 Bassekabaka 4:2
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Erisa n'amugamba nti Naakukolera ki? mbuulira: olina ki mu nnyumba? N'ayogera nti Omuzaana wo talina kintu mu nnyumba wabula akasumbi ak'amafuta.
Compare
Explore 2 Bassekabaka 4:2
2
2 Bassekabaka 4:1
Awo omukazi omu ow'oku bakazi b'abaana ba bannabbi n'ayogerera waggulu eri Erisa ng'ayogera nti Omuddu wo baze yafa: era omanyi ng'omuddu wo yatyanga Mukama: era ow'ebbanja azze okwetwalira abaana bange bombi okuba abaddu.
Explore 2 Bassekabaka 4:1
3
2 Bassekabaka 4:3
Awo n'ayogera nti Genda weeyazike ebintu ebweru mu banno bonna, ebintu ebyereere; weeyazike bingiko.
Explore 2 Bassekabaka 4:3
4
2 Bassekabaka 4:4
Awo n'oyingira weggalire ggwe ne batabani bo, ottululire mu bintu ebyo byonna; otereke ebijjudde.
Explore 2 Bassekabaka 4:4
5
2 Bassekabaka 4:6
Awo olwatuuka ebintu bwe byajjula n'agamba mutabani we nti Ndeetera nate ekintu. N'amugamba nti Tewakyali nate kintu. Amafuta ne gakoma.
Explore 2 Bassekabaka 4:6
6
2 Bassekabaka 4:7
Awo n'ajja n'abuulira omusajja wa Katonda. N'ayogera nti Genda otunde amafuta osasule ebbanja lyo, ebinaafikkawo bikuliisenga ggwe ne batabani bo.
Explore 2 Bassekabaka 4:7
7
2 Bassekabaka 4:5
Awo n'ava w'ali ne yeggalira ye ne batabani be; ne bamuleetera ebintu n'attulula.
Explore 2 Bassekabaka 4:5
8
2 Bassekabaka 4:34
N'alinnya n'agalamira ku mwana n'ateeka akamwa ke ku kamwa ke n'amaaso ge ku maaso ge n'emikono gye ku mikono gye: ne yeegololera ku ye; omubiri gw'omwana ne gubuguma.
Explore 2 Bassekabaka 4:34