Awo Yonasaani mutabani wa Sawulo n'agolokoka, n'agenda eri Dawudi mu kibira, n'anyweza omukono gwe mu Katonda. N'amugamba nti Totya: kubanga omukono gwa Sawulo kitange tegulikulaba; era gw'oliba kabaka wa isiraeri nange ndikuddirira obukulu; era n'ekyo Sawulo kitange akimanyi.