Awo olwatuuka oluvannyuma Dawudi n'alumwa omwoyo, kubanga yasala ku kirenge kya Sawulo. N'agamba abasajja be nti Mukama akiddize eri nze okukola mukama wange Mukama gwe yafukako amafuta ekigambo kino, okumugololera omukono gwange kubanga ye oyo Mukama gwe yafukako amafuta.