1
1 Samwiri 17:45
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Awo Dawudi n'agamba Omufirisuuti nti Ojja gye ndi n'ekitala n'olunyago n'effumu: naye nze njija gy'oli mu linnya lya Mukama ow'eggye, Katonda w'eggye lya Isiraeri, ly'osoomozezza.
Compare
Explore 1 Samwiri 17:45
2
1 Samwiri 17:47
Era ekibiina kino kyonna kitegeere nga Mukama talokola na kitala na ffumu: kubanga olutalo lwa Mukama, naye anaabagabula mu mukono gwaffe.
Explore 1 Samwiri 17:47
3
1 Samwiri 17:37
Dawudi n'ayogera nti Mukama eyamponya mu njala z'empologoma ne mu njala z'eddubu, alimponya ne mu mukono gw'Omufirisuuti oyo. Sawulo n'agamba Dawudi nti Genda, era Mukama anaaba naawe.
Explore 1 Samwiri 17:37
4
1 Samwiri 17:46
Leero Mukama anaakugabula mu mukono gwange; era naakukuba ne nkuggyako omutwe gwo; era naagabira ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko emirambo egy'eggye ery'Abafirisuuti; ensi zonna zitegeere nga mulimu Katonda mu Isiraeri.
Explore 1 Samwiri 17:46
5
1 Samwiri 17:40
N'addira omuggo gwe mu mukono gwe, ne yeerondera amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n'agateeka mu nsawo ey'omusumba gye yalina, mu ndyanga ye; n'envuumuulo ye yali mu mukono gwe: n'asemberera Omufirisuuti.
Explore 1 Samwiri 17:40
6
1 Samwiri 17:32
Dawudi n'agamba Sawulo nti Omuntu yenna aleme okuggwaamu omwoyo ku lulwe; omuddu wo anaagenda n'alwana n'Omufirisuuti oyo.
Explore 1 Samwiri 17:32