1
1 Samwiri 16:7
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Naye Mukama n'agamba Samwiri nti Totunuulira maaso ge newakubadde embala ye bw'eri empanvu; kubanga mugaanyi: kubanga Mukama talaba ng'abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufaanana okw'okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.
Compare
Explore 1 Samwiri 16:7
2
1 Samwiri 16:13
Awo Samwiri n'alyoka addira ejjembe ery'amafuta, n'amufukako amafuta wakati mu baganda be omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Dawudi n'amaanyi okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo. Awo Samwiri n'agolokoka n'agenda e Laama.
Explore 1 Samwiri 16:13
3
1 Samwiri 16:11
Samwiri n'agamba Yese nti. Abaana bo bonna bali wano? N'ayogera nti Ekyasigaddeyo omuto, era, laba, alunda endiga. Samwiri n'agamba Yese nti Tuma bamukime: kubanga tetuutuule okutuusa lw'anajja eno.
Explore 1 Samwiri 16:11