1
1 Abakkolinso 15:58
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Kale, baganda bange abaagalwa, munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongeranga bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng'okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.
Compare
Explore 1 Abakkolinso 15:58
2
1 Abakkolinso 15:57
naye Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.
Explore 1 Abakkolinso 15:57
3
1 Abakkolinso 15:33
Temulimbwanga: Okukwana n'ababi kwonoona empisa ennungi.
Explore 1 Abakkolinso 15:33
4
1 Abakkolinso 15:10
Naye olw'ekisa kya Katonda bwe ndi bwe ndi: n'ekisa kye ekyali gye ndi tekyali kya bwereere; naye nnakola emirimu mingi okusinga bonna: naye si nze, wabula ekisa kya Katonda ekyali nange.
Explore 1 Abakkolinso 15:10
5
1 Abakkolinso 15:55-56
Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa, okuluma kwo kuli luuyi wa? Okuluma kw'okufa kye kibi; n'amaanyi g'ekibi ge mateeka
Explore 1 Abakkolinso 15:55-56
6
1 Abakkolinso 15:51-52
Laba, mbabuulira ekyama: tetulyebaka fenna, naye fenna tulifuusibwa, mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa.
Explore 1 Abakkolinso 15:51-52
7
1 Abakkolinso 15:21-22
Kubanga okufa bwe kwabaawo ku bw'omuntu, era n'okuzuukira kw'abafu kwabaawo ku bwa muntu. Kuba bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era bwe batyo mu Kristo bonna mwe balifuukira abalamu.
Explore 1 Abakkolinso 15:21-22
8
1 Abakkolinso 15:53
Kubanga oguvunda guno kigugwanira okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa.
Explore 1 Abakkolinso 15:53
9
1 Abakkolinso 15:25-26
Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw'alissa abalabe be bonna wansi w'ebigere bye. Omulabe ow'enkomerero aliggibwawo, kwe kufa.
Explore 1 Abakkolinso 15:25-26
Home
Bible
Plans
Videos