1
1 Abakkolinso 13:4-5
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza, tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo
Compare
Explore 1 Abakkolinso 13:4-5
2
1 Abakkolinso 13:7
kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriziza byonna.
Explore 1 Abakkolinso 13:7
3
1 Abakkolinso 13:6
tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima
Explore 1 Abakkolinso 13:6
4
1 Abakkolinso 13:13
Naye kaakano waliwo okukkiriza, okusuubira, okwagala, ebyo byonsatule; naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala.
Explore 1 Abakkolinso 13:13
5
1 Abakkolinso 13:8
Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo.
Explore 1 Abakkolinso 13:8
6
1 Abakkolinso 13:1
Bwe njogera n'ennimi z'abantu n'eza bamalayika, naye ne ssiba na kwagala, nga nfuuse ekikomo ekivuga n'ebitaasa ebisaala.
Explore 1 Abakkolinso 13:1
7
1 Abakkolinso 13:2
Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n'okutegeera kwonna; era bwe mba n'okukkiriza kwonna, n'okuggyawo ne nziyawo ensozi; naye ne ssiba na kwagala, nga ssiri kintu.
Explore 1 Abakkolinso 13:2
8
1 Abakkolinso 13:3
Era bwe ngabira abaavu bye nnina byonna okubaliisanga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye ne ssiba na kwagala, nga ssiriiko kye ngasizza.
Explore 1 Abakkolinso 13:3
9
1 Abakkolinso 13:11
Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng'omuto, nnategeeranga ng'omuto, nnalowoozanga ng'omuto: bwe nnakula, ne ndeka eby'obuto.
Explore 1 Abakkolinso 13:11
Home
Bible
Plans
Videos