1
1 Abakkolinso 12:7
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Naye buli muntu aweebwa okulagibwa kw'Omwoyo olw'okugasa.
Compare
Explore 1 Abakkolinso 12:7
2
1 Abakkolinso 12:27
Naye mmwe muli mubiri gwa Kristo, n'ebitundu byagwo, buli muntu.
Explore 1 Abakkolinso 12:27
3
1 Abakkolinso 12:26
Era ekitundu ekimu bwe kibonaabona, ebitundu byonna bibonerabonera wamu nakyo; oba ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bisanyukira wamu nakyo.
Explore 1 Abakkolinso 12:26
4
1 Abakkolinso 12:8-10
Kubanga omulala Omwoyo amuweesa ekigambo eky'amagezi; n'omulala aweebwa ekigambo eky'okutegeera, ku bw'Omwoyo oyo: omulala okukkiriza, ku bw'Omwoyo oyo; n'omulala ebirabo eby'okuwonyanga, ku bw'Omwoyo omu; n'omulala okukolanga eby'amagero; n'omulala okubuuliranga; n'omulala okwawulanga emyoyo: omulala engeri z'ennimi; n'omulala okuvvuunuzanga ennimi
Explore 1 Abakkolinso 12:8-10
5
1 Abakkolinso 12:11
naye ebyo byonna Omwoyo oyo omu ye abikola, ng'agabira buli muntu kinnoomu nga ye bw'ayagala.
Explore 1 Abakkolinso 12:11
6
1 Abakkolinso 12:25
walemenga okubeera okwawula mu mubiri; naye ebitundu biyambaganenga bumu byokka na byokka.
Explore 1 Abakkolinso 12:25
7
1 Abakkolinso 12:4-6
Naye waliwo enjawulo z'ebirabo, naye Omwoyo ali omu. Era waliwo enjawulo z'okuweereza, era Mukama waffe ali omu. Era waliwo enjawulo z'okukola, naye Katonda ali omu, akola byonna mu bona.
Explore 1 Abakkolinso 12:4-6
8
1 Abakkolinso 12:28
Era Katonda yassaawo mu kkanisa abalala, okusooka batume, ab'okubiri bannabbi, ab'okusatu bayigiriza, nate eby'amagero, nate ebirabo eby'okuwonyanga, abayambi, abafuga, aboogezi b'ennimi.
Explore 1 Abakkolinso 12:28
9
1 Abakkolinso 12:14
Kubanga n'omubiri si kitundu kimu, naye bingi.
Explore 1 Abakkolinso 12:14
10
1 Abakkolinso 12:22
Naye, ekisinga ennyo, ebitundu bino eby'omubiri ebirowoozebwa okubeera ebinafu byetaagibwa
Explore 1 Abakkolinso 12:22
11
1 Abakkolinso 12:17-19
Omubiri gwonna singa liiso, okuwulira kwandibadde wa? Gwonna singa kuwulira, okuwunyiriza kwandibadde wa? Naye kaakano Katonda yassaawo ebitundu buli kinnakimu mu mubiri, nga bwe yayagala. Era byonna singa kyali kitundu kimu, omubiri gwandibadde wa?
Explore 1 Abakkolinso 12:17-19
Home
Bible
Plans
Videos