1
Okuva 23:25-26
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Oweerezanga MUKAMA Katonda wo yekka, emmere yo n’amazzi go ndyoke mbiwe omukisa. Ndiggyawo endwadde mu mmwe; tewaabengawo mugumba wadde avaamu olubuto. Ennaku z’obulamu bwo zonna nnaazituukirizanga.
Compare
Explore Okuva 23:25-26
2
Okuva 23:20
“Laba, ntuma malayika akukulembere, akutuuse bulungi mu kifo kye nteeseteese.
Explore Okuva 23:20
3
Okuva 23:22
Naye bw’onoowulirizanga eddoboozi lye, n’okola nga bwe ŋŋamba, kale nnaakyawanga abakukyawa, n’abalabe bo banaabanga balabe bange.
Explore Okuva 23:22
4
Okuva 23:2-3
“Tokolagananga na kibiina ky’omanyi nga bye kiriko bikyamu. Bw’obanga owa obujulirwa mu musango, tokkirizanga kusikibwa kibiina ne kikuweesa obujulizi obw’obulimba nga weekubira ku ludda lwe kiriko; era towanga bujulirwa bukyamu oyambe omuntu yenna olwokubanga mwavu.
Explore Okuva 23:2-3
5
Okuva 23:1
“Tosaasaanyanga ŋŋambo. Teweegattanga na muntu mubi, ng’owa obujulirwa obw’obulimba bulyoke bumuyambe.
Explore Okuva 23:1