1
Okuva 24:17-18
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Abaana ba Isirayiri bwe baatunuulira ekitiibwa kya MUKAMA, ne kibalabikira ng’omuliro ogw’amaanyi ennyo ku ntikko y’olusozi. Musa n’ayingira mu kire ng’agenda alinnyalinnya olusozi. Ku lusozi yamalako ennaku amakumi ana.
Compare
Explore Okuva 24:17-18
2
Okuva 24:16
Ekitiibwa kya MUKAMA ne kibeera ku Lusozi Sinaayi. Ekire ne kibikka olusozi okumala ennaku mukaaga; ku lunaku olw’omusanvu MUKAMA n’ayita Musa ng’asinziira wakati mu kire.
Explore Okuva 24:16
3
Okuva 24:12
MUKAMA n’agamba Musa nti, “Yambuka eno gye ndi ku lusozi, obeere wano olinde; nzija kukuwa ebipande eby’amayinja okuli amateeka g’empandiise ogayigirize abantu.”
Explore Okuva 24:12