1
2 Abakkolinso 6:14
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Temwegattanga wamu n’abatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati w’obutuukirivu n’obujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza?
Compare
Explore 2 Abakkolinso 6:14
2
2 Abakkolinso 6:16
Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti, “Nnaabeeranga mu bo era natambuliranga mu bo, nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.”
Explore 2 Abakkolinso 6:16
3
2 Abakkolinso 6:17-18
Noolwekyo “muve wakati mu bo, mubeeyawuleko, bw’ayogera Mukama. Temukwata ku bitali birongoofu, nange nnaabaaniriza.” Era “nnaabeeranga Kitammwe, nammwe ne mubeeranga batabani bange ne bawala bange,” bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.
Explore 2 Abakkolinso 6:17-18
4
2 Abakkolinso 6:15
Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki omukkiriza gw’alina n’atali mukkiriza?
Explore 2 Abakkolinso 6:15