1
2 Abakkolinso 5:17
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya.
Compare
Explore 2 Abakkolinso 5:17
2
2 Abakkolinso 5:21
Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.
Explore 2 Abakkolinso 5:21
3
2 Abakkolinso 5:7
Kubanga tutambula lwa kukkiriza so si lw’amaaso gaffe bye galaba.
Explore 2 Abakkolinso 5:7
4
2 Abakkolinso 5:18-19
Ebintu byonna biva eri Katonda eyatukomyawo gy’ali nga tuyita mu Kristo, era ne tuweebwa obuweereza obw’okutabaganya. Kubanga Katonda yali mu Kristo, ng’atabagana n’abantu, nga tababalira, bibi byabwe, n’atuteresa ffe obubaka obw’okutabaganya.
Explore 2 Abakkolinso 5:18-19
5
2 Abakkolinso 5:20
Noolwekyo ku bwa Kristo tuli babaka, era Katonda atuma ffe okwogera nammwe. Kyetuva tubeegayirira, ku bwa Kristo, mutabagane ne Katonda.
Explore 2 Abakkolinso 5:20
6
2 Abakkolinso 5:15-16
Yafiirira abantu bonna; abalamu balemenga okubeera abalamu ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira era n’azuukira, okuva kaakano, tuleme okumanya omuntu yenna mu mubiri, bwe tuba nga ddala twamanya Kristo mu mubiri. Naye kaakano tetukyamumanyi bwe tutyo.
Explore 2 Abakkolinso 5:15-16
7
2 Abakkolinso 5:14
Kubanga okwagala kwa Katonda kutuwaliriza, ng’omu bwe yafiirira bonna, bonna kyebaava bafa.
Explore 2 Abakkolinso 5:14