1
2 Abakkolinso 4:18
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.
Compare
Explore 2 Abakkolinso 4:18
2
2 Abakkolinso 4:16-17
Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo. Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa eky’amaanyi eky’emirembe n’emirembe.
Explore 2 Abakkolinso 4:16-17
3
2 Abakkolinso 4:8-9
Tunyigirizibwa erudda n’erudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika. Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka
Explore 2 Abakkolinso 4:8-9
4
2 Abakkolinso 4:7
Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya eby’ebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe.
Explore 2 Abakkolinso 4:7
5
2 Abakkolinso 4:4
Katonda w’emirembe gino yazibikira ebirowoozo by’abo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri ey’ekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda.
Explore 2 Abakkolinso 4:4
6
2 Abakkolinso 4:6
Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.
Explore 2 Abakkolinso 4:6