1
Zabbuli 31:24
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Muddemu amaanyi, mugume omwoyo, Mwenna abalina essuubi mu Mukama.
Compare
Explore Zabbuli 31:24
2
Zabbuli 31:15
Obulamu bwange buli mu mikono gyo, Ondokole mu mukono gw'abalabe bange n'abo abanjigganya.
Explore Zabbuli 31:15
3
Zabbuli 31:19
Obulungi bwo nga bungi bwe waterekera abo abakutya, Bwe wakolera abakwesiga, mu maaso g'abaana b'abantu!
Explore Zabbuli 31:19
4
Zabbuli 31:14
Naye nze nneesiga ggwe, ayi Mukama, Njogera nti, “Ggwe Katonda wange.”
Explore Zabbuli 31:14
5
Zabbuli 31:3
Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange; Kale ku lw'erinnya lyo onkulembere onnuŋŋamye.
Explore Zabbuli 31:3
6
Zabbuli 31:5
Mpaayo omwoyo gwange mu mukono gwo: Ggwe wannunula, ayi Mukama, ggwe Katonda omwesigwa.
Explore Zabbuli 31:5
7
Zabbuli 31:23
Kale mumwagalenga Mukama, mwenna abatukuvu be: Mukama awonya abeesigwa, Naye abeekulumbaza ababonereza nga bwe basaanidde.
Explore Zabbuli 31:23
8
Zabbuli 31:1
Ayi Mukama, ggwe buddukiro bwange, tondeka kuswala n'akatono, Ondokole mu butuukirivu bwo.
Explore Zabbuli 31:1