Mwana wange, bw'onokkirizanga ebigambo byange,
N'ewekuumanga ebiragiro byange,
N'okutega n'oteganga okutu kwo eri amagezi
N'ossaayo omutima gwo okutegeera;
Bw'onookabiranga okufuna okumanya,
Era nooyaayaaniranga okufuna okutegeera,
N'onoonya amagezi nga ffeeza,
N'ogawenja ng'eby'obugagga ebyakwekebwa,
Olwo lw'olitegeera okutya Mukama,
N'ovumbula okumanya Katonda.