Yesu n'addamu nti, “ Ery'olubereberye lye lino nti, ‘Wulira Isiraeri; Mukama Katonda waffe, Mukama ye omu; era yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna, n'amaanyi go gonna.’ Eryokubiri lye lino nti, ‘ Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewali tteeka ddala erisinga ago obukulu.”