1
Makko 13:13
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Munnaakyayibwanga bonna olw'erinnya lyange: naye agumiikiriza okutuusa enkomerero oyo ye alirokoka.
Compare
Explore Makko 13:13
2
Makko 13:33
Mwekuumenga, mutunulenga, musabenga: kubanga temumanyi biro we birituukira.
Explore Makko 13:33
3
Makko 13:11
Era bwe babatwalanga okubawaayo, temusookanga kweraliikirira bwe munaayogera: naye kyonna kyonna kye muweebwanga mu kiseera ekyo, ekyo kye mwogeranga, kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo Omutukuvu.
Explore Makko 13:11
4
Makko 13:31
Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono.
Explore Makko 13:31
5
Makko 13:32
Naye eby'olunaku olwo oba ekiseera ekyo tewali amanyi, newakubadde bamalayika abali mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange.
Explore Makko 13:32
6
Makko 13:7
Awo bwe muwuliranga entalo n'ettutumo ly'entalo, temweraliikiriranga: kibigwanira okubaawo; naye enkomerero ng'ekyali.
Explore Makko 13:7
7
Makko 13:35-37
Kale mutunule: kubanga temumanyi mukama w'ennyumba w'alijjira, oba kawungeezi, oba ttumbi, oba ng'enkoko ekookolima, oba nkya; si kulwa ng'akomawo amangwago n'abasanga nga mwebase. Era kye mbagamba mmwe mbagamba bonna nti, Mutunule.
Explore Makko 13:35-37
8
Makko 13:8
Kubanga eggwanga lirirumba ggwanga linnaalyo, n'obwakabaka obwakabaka bunnaabwo: walibaawo ebikankano mu bifo bingi; walibaawo enjala: ebyo lwe lubereberye lw'okulumwa.
Explore Makko 13:8
9
Makko 13:10
Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna.
Explore Makko 13:10
10
Makko 13:6
Bangi abalijja mu linnya lyange nga boogera nti, Nze nzuuyo; era balikyamya bangi.
Explore Makko 13:6
11
Makko 13:9
Naye mwekuume mwekka: kubanga balibawaayo mu nkiiko: mulikubirwa ne mu makuŋŋaaniro; era muliyimirira mu maaso g'abaamasaza ne bakabaka ku lwange, okubeera abajulirwa mu bo.
Explore Makko 13:9
12
Makko 13:22
kubanga bakristo ab'obulimba ne bannabbi ab'obulimba balijja, balikola obubonero n'ebyewuunyo, okukyamya, oba nga kiyinzika n'abalonde.
Explore Makko 13:22
13
Makko 13:24-25
Naye mu nnaku ezo, okulaba ennaku okwo nga kuwedde, enjuba erikwata ekizikiza, n'omwezi teguliwa kitangaala kyagwo, n'emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa.
Explore Makko 13:24-25
Home
Bible
Plans
Videos