1
Yeremiya 18:6
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
“Ayi ennyumba ya Isiraeri, nze siyinza kubakola ng'omubumbi ono? Bwayogera Mukama. Laba, ebbumba nga bwe liri mu mukono gw'omubumbi, nammwe bwe muli bwe mutyo mu mukono gwange, ayi ennyumba ya Isiraeri.
Compare
Explore Yeremiya 18:6
2
Yeremiya 18:7-8
Singa mba njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, nti ŋŋenda, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza; naye eggwanga eryo lye njogeddeko bwe lirikyuka okuleka obubi bwabwe, ndyejjusa obubi bwe nnali ndowooza okubakola.
Explore Yeremiya 18:7-8
3
Yeremiya 18:9-10
Bwe ndiba nga njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, nti ŋŋenda, okulizimba n'okulisimba; naye bwe lirikola obubi mu maaso gange, ne batawulira ddoboozi lyange, kale ndikyusa obulungi bwe nnayogera okubakola.
Explore Yeremiya 18:9-10