“ Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, era Mukama nga lye ssuubi lye. Kubanga aliba ng'omuti ogwasimbibwa awali amazzi, emirandira gyagwo ne gikula nga gidda awali omugga, so tegulitya musana bwe gwaka ennyo, naye amalagala gaagwo galyera; so tegulyeraliikiririra mu mwaka ogw'ekyeya, so tegulirekayo kubala bibala.”