1
Yeremiya 19:15
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, Laba, ndireeta ku kibuga kino ne ku mbuga zaakyo zonna obubi bwonna bwe nnakirangirirako; kubanga bakakanyaza ensingo zaabwe, ne bagaana okuwulira ebigambo byange.”
Compare
Explore Yeremiya 19:15
2
Yeremiya 19:5
era baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali okwokya batabani baabwe mu muliro okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Baali; kye ssiragiranga so saakyogera so tekinzijirangako na mu mwoyo gwange
Explore Yeremiya 19:5
3
Yeremiya 19:4
Kubanga bandekawo ne bakaafuwaza ekifo kino, ne bootereza omwo obubaane eri bakatonda abalala, be batamanyanga, bo ne bajjajjaabwe ne bassekabaka ba Yuda; era bajjuza ekifo kino omusaayi gw'abantu abataliiko musango
Explore Yeremiya 19:4