Yeremiya 17:5-6
Yeremiya 17:5-6 LBR
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Akolimiddwa omusajja oyo eyeesiga abantu, n'afuula omubiri okuba ensibuko ya maanyi ge, n'omutima gwe ne guva ku Mukama. Kubanga alifaanana omwoloola oguli mu ddungu, so taliraba ebirungi ebirijja; naye alibeera mu biwalakate mu ddungu, ensi ey'omunnyo eteriimu bantu.





