1
Isaaya 19:25
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
kubanga Mukama ow'eggye abawadde omukisa, ng'ayogera nti Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n'Obwasuli omulimu gw'emikono gyange, ne Isiraeri obusika bwange.
Compare
Explore Isaaya 19:25
2
Isaaya 19:20
Era eriba kabonero era omujulirwa eri Mukama ow'eggye mu nsi y'e Misiri: kubanga balikaabira Mukama olw'abajoozi, naye alibaweereza omulokozi, era omukuumi, naye alibalokola.
Explore Isaaya 19:20
3
Isaaya 19:1
Omugugu gwa Misiri. Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo n'ajja mu Misiri; n'ebifaananyi eby'e Misiri birikankanira mu maaso ge, n'emitima gy'Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.
Explore Isaaya 19:1
4
Isaaya 19:19
Ku lunaku luli waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y'e Misiri, n'empagi ya Mukama eriba ku nsalo yaayo.
Explore Isaaya 19:19