1
Isaaya 12:2
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Laba, Katonda bwe bulokozi bwange, nnaamwesiganga ne ssitya. Mukama Yakuwa ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era ye afuuse obulokozi bwange.
Compare
Explore Isaaya 12:2
2
Isaaya 12:3
Munasenanga n'essanyu amazzi okuva mu nzizi ez'obulokozi.
Explore Isaaya 12:3
3
Isaaya 12:5
Mu muyimbire Mukama, kubanga akoze eby'ekitalo. Mubimanyise mu nsi yonna.
Explore Isaaya 12:5
4
Isaaya 12:4
Era ku lunaku olwo mulyogera nti, “Mwebaze Mukama, mutendereze erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.”
Explore Isaaya 12:4
5
Isaaya 12:1
Ku lunaku olwo abantu balyogera bwe bati, “Nnaakwebaza, ayi Mukama; kubanga newakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo buweddewo, kaakati onzizizzaamu amaanyi.”
Explore Isaaya 12:1
6
Isaaya 12:6
Yogerera waggulu era oyimbire waggulu n'essanyu, ggwe atuula mu Sayuuni: kubanga Omutukuvu owa Isiraeri ali wakati mu ggwe mukulu.
Explore Isaaya 12:6