Era amawanga mangi agalyambuka ne googera
nti, Mujje, twambuke eri lusozi lwa Mukama,
eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo,
era anaatuyigirizanga ku makubo ge,
naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze;
kubanga mu Sayuuni mwe mulifuluma amateeka,
n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi.