Laba, enkya nga mu kiseera kino n'atonnyesa omuzira omuzito ennyo, ogutalabikangako mu Misiri kasookedde ebaawo okutuusa kaakano. Kale kaakano lagira abaddu bo baggye mangu amagana go ku ttale; kubanga buli muntu, n'ensolo ebinaasigala ku ttale, ne bitayingizibwa mu nnyumba, omuzira gujja kubikuba gubitte.”