1
Okuva 8:18-19
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama balyoke baleete ensekere, naye ne batayinza. Ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo. Abasawo ne balyoka bagamba Falaawo nti, “Eno ye ngalo ya Katonda.” Naye Falaawo n'akakanyaza omutima gwe, n'atawulira; nga Mukama bwe yayogera.
Compare
Explore Okuva 8:18-19
2
Okuva 8:1
Mukama n'agamba Musa nti, “Yingira eri Falaawo, omugambe nti, Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti, Leka abantu bange, bampeereze.
Explore Okuva 8:1
3
Okuva 8:15
Naye Falaawo bwe yalaba ng'ebikere biweddewo, n'akakanyaza omutima gwe n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.
Explore Okuva 8:15
4
Okuva 8:2
Era bw'onoogaana ggwe okubaleka, laba, ndibonereza ensi yo, ne ngijjuzaamu ebikere.
Explore Okuva 8:2
5
Okuva 8:16
Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni nti, ‘Golola omuggo gwo okube enfuufu y'ensi, efuuke ensekere zibune nsi yonna ey'e Misiri.’ ”
Explore Okuva 8:16
6
Okuva 8:24
Mukama n'akola bw'atyo; ebikuukuulu by'ensowera bingi ne bijja mu nnyumba ya Falaawo ne mu nnyumba z'abaddu be; ne mu nsi yonna ey'e Misiri; ensi n'efaafaagana olw'ebikuukuulu by'ensowera.
Explore Okuva 8:24
Home
Bible
Plans
Videos