“Falaawo bw'alibagamba nti, ‘Mukoleewo eky'amagero;’ awo n'olyoka ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga Falaawo, gufuuke omusota.’ ” Musa ne Alooni ne bayingira ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yalagira. Alooni n'asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaddu be, ne gufuuka omusota.