Mukama n'ayogera nti, “Ndabidde ddala okubonaabona okw'abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe olw'abo ababakozesa; ntegeeredde ddala okubonaabona kwabwe; era nzise okubawonya mu mukono ogw'Abamisiri, n'okubaggya mu nsi eyo, mbayingize mu nsi ennungi, era engazi, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; erimu kati Abakanani, Abakiiti, Abamoli, Abaperizi, Abakiivi n'Abayebusi.