Lwali lumu, Musa ng'amaze okukula, n'agenda eri baganda be Abaebbulaniya; n'alaba okutuntuzibwa kwabwe. N'alaba Omumisiri ng'akuba Omwebbulaniya, ow'omu baganda be. N'amagamaga eruuyi n'eruuyi n'alaba nga tewali muntu, n'alyoka atta Omumisiri, n'amukweka mu musenyu.