1
Omubuulizi 5:2
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Akamwa ko tekanguyirizanga, so n'omutima gwo guleme okwanguyirizanga okwogera ekigambo kyonna mu maaso ga Katonda; kubanga Katonda ali mu ggulu, naawe oli ku nsi; kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
Compare
Explore Omubuulizi 5:2
2
Omubuulizi 5:19
Era buli muntu Katonda gw'awadde obugagga n'ebintu, era ng'amuwadde n'obuyinza okubiryangako n'okuddiranga omugabo gwe n'okusanyukiranga okutegana kwe; ekyo kye kirabo kya Katonda.
Explore Omubuulizi 5:19
3
Omubuulizi 5:10
Ayagala ffeeza takkutenga ffeeza; so n'oyo ayagala obugagga, n'amagoba g'abwo taabikutenga: era n'ekyo butaliimu.
Explore Omubuulizi 5:10
4
Omubuulizi 5:1
Okuumanga ekigere kyo bw'ogendanga mu nnyumba ya Katonda; kubanga okusembera okuwulira kusinga okuwaayo ssaddaaka ey'abasirusiru; kubanga tebamanyi nga bakola bubi.
Explore Omubuulizi 5:1
5
Omubuulizi 5:4
Bw'oneeyamanga obweyamo eri Katonda, tolwangawo okubusasula; kubanga tasanyukira basirusiru: osasulanga ekyo kye weeyama.
Explore Omubuulizi 5:4
6
Omubuulizi 5:5
Waakiri oleme okweyama, okusinga okweyama n'olema okusasula.
Explore Omubuulizi 5:5
7
Omubuulizi 5:12
Otulo otw'omukozi w'emirimu tumuwoomera, ne bw'aba nga alya bitono oba nga bingi: naye omukkuto ogw'omugagga tegumuganya kwebaka.
Explore Omubuulizi 5:12
8
Omubuulizi 5:15
Nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina, ng'ali bwereere, bw'atyo bw'aliddayo, nga bwe yajja, so talitwala kintu olw'okutegana kwe, ky'ayinza okutwala mu mukono gwe.
Explore Omubuulizi 5:15