1
Omubuulizi 4:9-10
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Babiri basinga omu; kubanga baba n'empeera ennungi olw'okutegana kwabwe. Kubanga bwe bagwa omu aliyimusa munne; naye zimusanze oyo ali yekka bw'agwa, so nga talina munne amuyimusa.
Compare
Explore Omubuulizi 4:9-10
2
Omubuulizi 4:12
Era newakubadde omuntu asobola okusinga oyo ali yekka, naye ababiri be bamusobola. Omugwa ogw'emiyondo esatu tegutera kukutuka.
Explore Omubuulizi 4:12
3
Omubuulizi 4:11
Nate babiri bwe bagalamirira awamu, lwe babuguma; naye omu ayinza atya okubuguma bw'aba yekka?
Explore Omubuulizi 4:11
4
Omubuulizi 4:6
Olubatu olumu wamu n'okutereera lusinga embatu ebbiri wamu n'okutegana n'okugoberera empewo.
Explore Omubuulizi 4:6
5
Omubuulizi 4:4
Awo ne ndyoka ndaba okutegana kwonna na buli mulimu ogw'amagezi, ng'olwekyo omuntu kyava amukwatirwa munne obuggya. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.
Explore Omubuulizi 4:4
6
Omubuulizi 4:13
Omulenzi omwavu omugezigezi asinga kabaka omukadde omusirusiru atakyagala kubuulirirwa.
Explore Omubuulizi 4:13