1
Omubuulizi 11:9
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Sanyukiranga obuvubuka bwo, ggwe omulenzi; omutima gwo gukusanyusenga mu nnaku ez'obuvubuka bwo, otambulirenga mu makubo ag'omutima gwo ne mu kulaba kw'amaaso go; naye tegeera nga Katonda alikusalira omusango gw'ebyo byonna.
Compare
Explore Omubuulizi 11:9
2
Omubuulizi 11:10
Kale ggyangawo obuyinike ku mutima gwo, oggyengawo obubi ku mubiri gwo; kubanga obuto n'obuvubuka butaliimu.
Explore Omubuulizi 11:10
3
Omubuulizi 11:4
Alabirira embuyaga talisiga; n'oyo atunuulira ebire talikungula.
Explore Omubuulizi 11:4
4
Omubuulizi 11:5
Nga bw'otomanyi ekkubo ery'empewo bwe liri, newakubadde amagumba bwe gakulira mu lubuto lw'oyo ali olubuto; era bw'otyo bw'otomanyi mulimu gwa Katonda akola byonna.
Explore Omubuulizi 11:5
5
Omubuulizi 11:6
Enkya osiganga ensigo zo, n'akawungeezi toddirizanga mukono gwo; kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi.
Explore Omubuulizi 11:6
6
Omubuulizi 11:2
Owenga musanvu omugabo, weewaawo, munaana; kubanga tomanyi ekibi bwe kiriba ku nsi.
Explore Omubuulizi 11:2