1
Omubuulizi 2:26
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Kubanga omuntu asanyusa Katonda; Katonda gw'awa amagezi n'okumanya n'essanyu; naye alina ebibi amuwa okutegana, akuŋŋaanye atuume entuumo, awe oyo asanyusa Katonda. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.
Compare
Explore Omubuulizi 2:26
2
Omubuulizi 2:24-25
Tewali kintu ekigasa omuntu okusinga okulya n'okunywa n'okuliisa emmeeme ye ebirungi ebiva mu kutegana kwe. Era n'ekyo nnakiraba nga kiva eri omukono gwa Katonda. Kubanga ani ayinza okulya, oba ani ayinza okuba n'essanyu okukira nze?
Explore Omubuulizi 2:24-25
3
Omubuulizi 2:11
Awo ne ndyoka ntunuulira emirimu gyonna emikono gyange gye gyali gikoze n'okutegana kwe nnategana okukola; era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo, so nga tewali kintu kigasa wansi w'enjuba.
Explore Omubuulizi 2:11
4
Omubuulizi 2:10
Na buli kintu amaaso gange kye geegombanga ssaakigamma; ssaaziyiza mutima gwange obutalaba ssanyu lyonna, kubanga omutima gwange gwasanyuka olw'emirimu gyange gyonna; era guno gwe gwali omugabo gwange ogwava mu mirimu gyange gyonna.
Explore Omubuulizi 2:10
5
Omubuulizi 2:13
Awo ne ndaba ng'amagezi gasinga obusirusiru obulungi, era ng'omusana bwe gusinga ekizikiza.
Explore Omubuulizi 2:13
6
Omubuulizi 2:14
Omugezigezi amaaso ge gaba ku mutwe gwe, n'omusirusiru atambulira mu kizikiza; era naye ne ntegeera nga bonna ekigambo kimu ekibatuukako.
Explore Omubuulizi 2:14
7
Omubuulizi 2:21
Kubanga wabaawo omuntu okutegana kwe kulina amagezi n'okumanya n'obukabakaba; naye omuntu atategananga mu byo gw'alikulekera okuba omugabo gwe. Era n'ekyo butaliimu na kabi kanene.
Explore Omubuulizi 2:21