رفتن به محتوا

ZEFANIYA 3

3
Okwonoona n'okununulwa kwa Yerusaalemu
1Yerusaalemu zikisanze
ekibuga ekyo ekyonoonefu
era ekijeemu,
ekibonyaabonya abantu baakyo!
2Tekyawuliriza n'omu
era tekyakkiriza kubuulirirwa.
Tekyesiga Mukama,
era tekyeyuna eri Katonda waakyo.
3Abakungu baamu
bali ng'empologoma eziwuluguma,
abalamuzi baamu
bali ng'emisege egy'akawungeezi,
egyayitirira amaddu
obutafissaawo ggumba
okutuusa enkeera!
4Abalanzi baamu
baggwaamu ensa,
era ba nkwe.
Bakabona baakyo
boonoona ebitukuvu.
Bafuulafuula amateeka ga Katonda,
okufuna bye baagala.
5Naye Mukama
akyali mu kibuga ekyo
akola ebituufu,
era talikola bikyamu.
Buli nkya, awatali kwosa,
alaga nga bw'ali omwenkanya.
Naye abantu ababi
tebakwatibwa nsonyi,
bongera kukola bibi!
6Mukama agamba nti:
“Nsaanyizzaawo amawanga,
ebigo byago ebigumu
bisigadde matongo.
Nzisizza enguudo zaago,
ne wataba aziyitamu.
Ebibuga byago byabuliddwa,
tewakyali babibeeramu.
7Olwo ne ŋŋamba nti abantu bange
bananzisaamu ekitiibwa,
banakkiriza bye mbabuulirira,
ennyumba zaabwe zireme kusaanawo
olw'ebyo byonna
bye nababonerezaamu.
Naye beeyongera bweyongezi
okukola ebikolwa ebibi!”
8Mukama agamba nti:
“Mugira munnindako
okutuuka ku lunaku
lwe ndisitukirako
okutandika omuyiggo.#3:8 okutandika omuyiggo: Mu Luyonaani n'Olusiriya: “Okulumiriza amawanga.”
Mmaliridde okukuŋŋaanya
amawanga n'obwakabaka,
mbimalireko essungu n'ekiruyi.
Omuliro gw'obuggya bwe mpulira,
gulizikiriza ensi zonna.
9“Mu biro ebyo ndikyusa
emitima gy'abantu
ab'omu mawanga,
basinzenga nze nzekka,
era bampeerezenga
n'omutima gumu.
10Abalinneegayirira
be bantu bange abaasaasaana.
Banaavanga emitala w'emigga
egy'omu Etiyopiya
ne bandeetera ebirabo.
11Mu kiseera ekyo
mmwe abantu bange
temuliswazibwa
olw'ebikolwa byammwe
eby'okunjeemera,
kubanga ndiggyawo mu mmwe
abeekulumbaza era abeenyumiriza,
ne mutaddamu kunjeemera
ku lusozi lwange olutukuvu.
12Mu mmwe ndirekamu abo
abeetoowaze era abaavu,
abananneesiganga nze Mukama.
13Abayisirayeli abaliwonawo
tebaakolenga bikyamu.
Tebaalimbenga,
era tebaayogerenga bya bukuusa.
Banaabeeranga bulungi,
era tewaliba abatiisa.”#Laba ne Kub 14:5
Oluyimba olw'essanyu
14Abayisirayeli, muyimbe musaakaanye!
Ab'omu Yerusaalemu, musanyuke,
mujaganye n'omutima gwammwe gwonna.
15Mukama aggyeewo emisango gyammwe,
agobye abalabe bammwe bonna.
Mukama, Kabaka wa Yisirayeli
ali wamu nammwe,
tewakyali kibatiisa.
16Ekiseera kijja kutuuka
bagambe Yerusaalemu nti:
“Totya, ggwe Siyooni!
Emikono gyo gireme kuddirira!
17Mukama, Katonda wo, ali wamu naawe,
ye muzira akulwanirira n'owangula.
Alikusanyukira nnyo,
aliddamu okukulaga okwagala kwe,
alikwaniriza ng'ayimba nga musanyufu,
18ng'abali ku mbaga bwe basanyuka.”
Mukama agamba nti:
“Nzigyeewo akabi akandikutuuseeko,
era nkuggyeeko obuswavu.
19“Ekiseera kijja kutuuka
mbonereze bonna
abaakubonyaabonya.
Ndiwonya abalema,
ne nkuŋŋaanya
abaasaasaanyizibwa.
Okuswala kwabwe
ndikufuula ekitiibwa,
ensi zonna ne zibatendereza.
20Ekiseera kijja kutuuka
mbakuŋŋaanye mmwe,
mbakomyewo ewammwe.
Ndibafuula abamanyiddwa
mu bantu bonna ku nsi,
bwe ndibaddizaawo ebirungi nga mulaba.”
Mukama ye ayogedde.