ZEFANIYA 2
2
Okukubiriza abantu okwenenya
1Mmwe ab'omu ggwanga
eritalina nsonyi, mukuŋŋaane,
2nga temunnasaasaanyizibwa ng'ebisusunku
ebitwalibwa embuyaga,
era nga Mukama
tannabasunguwalira nnyo,
nga n'olunaku terunnatuuka
lw'aliragirako ekiruyi.
3Mudde eri Mukama mmwe mwenna
abeetoowaze abali mu nsi,
era abakola by'ayagala.
Mukole ebituufu era mwetoowaze,
oboolyawo muliwona ekibonerezo
ku lunaku, Mukama
lw'aliragirako obusungu bwe.
Akabi akalituuka ku mawanga ageetoolodde Yisirayeli
4Gaaza kiryabulirwa,
Asukelooni kirisigala matongo.
Ab'omu Asudoodi
baligobwamu mu ttuntu.
Ne Ekurooni kirisaanyizibwawo.#Laba ne Yis 14:29-31; Yer 47:1-7; Ezek 25:15-17; Yol 3:4-8 Amo 1:6-8; Zek 9:5-7
5Zibasanze mmwe Abakereti,
abali ku lubalama lw'ennyanja!
Mukama akusalidde omusango
ggwe Kanaani, ensi y'Abafilistiya:
alikuzikiriza n'otosigalamu muntu!
6Naawe olubalama lw'ennyanja,
oliba malundiro
omuli ensiisira z'abasumba,
n'ebisibo by'embuzi n'endiga.
7Ab'omu Buyudaaya abaliwonawo,
be balibeera omwo balundirengamu,
era basulenga mu mayumba
ag'omu Asukelooni,
kubanga Mukama Katonda waabwe
alibeera wamu nabo,
n'abaddizaawo ebirungi.
8Mukama agamba nti:
“Mpulidde ab'e Mowaabu
n'ab'e Ammoni nga bavuma
era nga bakudaalira abantu bange,
era nga beewaana
nga bwe bajja okunyaga ensi yaabwe.#Laba ne Yis 15:1–16:14; 25:10-12; Yer 48:1–49:6; Ezek 21:28-32; 25:1-11; Amo 1:13-15
9Kale nga bwe ndi omulamu,
nze Mukama Nnannyinimagye,
Katonda wa Yisirayeli,
ndayidde nti Mowaabu
kiriba nga Sodoma,
n'Abammoni baliba nga Gomora:
ebifo omufuŋŋamye omwennyango,
n'ebinnya omusimibwa omunnyo,
era amatongo agataliggwaawo.
Abantu bange abalisigalawo
balinyaga ensi ezo.
Bakaawonawo mu ggwanga lyange
balizifuula zaabwe.”#Laba ne Nta 19:24
10Abantu b'e Mowaabu n'ab'e Ammoni
bwe batyo bwe balibonerezebwa
olw'okwekulumbaza kwabwe,
n'olw'okuvuma abantu
ba Mukama Nnannyinimagye
11Mukama alibatiisa.
Alitoowaza balubaale bonna ku nsi.
Ab'amawanga gonna balimusinza,
nga basinziira mu nsi zaabwe.
12Nammwe ab'e Etiyopiya
Mukama alibatta.#Laba ne Yis 18:1-7
13Mukama alikozesa obuyinza bwe
n'azikiriza Assiriya.
Ekibuga ky'e Nineeve
alikifuula matongo,
era kikalu ng'eddungu.#Laba ne Yis 10:5-34; 14:24-27; Nah 1:1–3:19
14Kirifuuka ekifo
omunaagalamiranga amagana,
n'ebisolo byonna
ebya buli ngeri.
Ebiwuugulu binaasulanga
mu bifulukwa byakyo,
biwuugulirenga mu madirisa.
Binnamuŋŋoona
binaakaabiranga mu miryango.
Emiti emyole egya keduro
giriggyibwa ku bizimbe byakyo.
15Ebyo bye birituuka ku kibuga
ekyenyumirizanga
olw'obuyinza bwakyo,
ne kirowooza nti
tekirituukibwako kabi.
Kyewaananga nti:
“Nze tewali annenkana!”
Nga kirifuuka matongo,
ekifo ebisolo we biwummulira!
Buli ayitawo aneesoozanga
n'afunya ebikonde,
n'anyeenya emikono gye.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.