رفتن به محتوا

SIRAKI 3

3
Omulimu gw'abazadde
1Abaana, mumpulirize nga kitammwe, mukole kye mbagamba, mulyoke mube mirembe. 2Kubanga Mukama yawa bakitaawe b'abaana obuyinza ku baana baabwe, n'alagira abaana okuwuliranga bannyaabwe. 3Assaamu kitaawe ekitiibwa, atukuzibwako ebibi bye. 4Awa nnyina ekitiibwa aba ng'eyeeterekedde obugagga. 5Assaamu kitaawe ekitiibwa, alisanyusibwa abaana ababe, Mukama aliwulira by'amusaba. 6Assaamu kitaawe ekittibwa aliwangaala. Awulira Mukama yeesiimisa nnyina. 7Atya Mukama assaamu bakadde be ekitiibwa era abaweereza nga bakama be.
8Wuliranga kitaawo mu byonna by'oyogera ne by'okola, ofune omukisa gwe.#Laba ne Kuv 20:12 9Omukisa gwa kitaawe w'abaana gugumya amaka gaabwe, naye ekikolimo kya nnyaabwe kyabuluza omusingi gwago.
10Tosanyukiranga kuswala kwa kitaawo, 11kubanga okuswala kwe tekukuweesa kitiibwa. Abaana bwe batassaamu nnyaabwe kitiibwa, bo bennyini be baswala. 12Mwana wange, labiriranga kitaawo ng'akaddiye, tomunakuwazanga mu bulamu bwe. 13Ne bw'aba takyategeera bulungi, omusaasiranga. Tomunyoomanga. 14Eby'ekisa by'okolera kitaawo tebiryerabirwa, era birikusonyiyisa ebibi byo. 15Mu kiseera eky'okubonaabona Mukama alibijjukira n'akuyamba, era ebibi byo biriggwaawo ng'omuzira bwe gusaanuuka mu musana. 16Anyooma kitaawe aba ng'avumye Mukama. Asunguwaza nnyina aba akolimiddwa Mukama.
Obwetoowaze
17Mwana wange, tuukirizanga emirimu gyo n'obwetoowaze, lw'olyagalwa abo Katonda b'asiima. 18Gy'okoma okuba omukulu, gy'okomanga okuba omwetoowaze, Mukama lw'alikusiima.#3:18 Ebiwandiiko ebimu mu Luyonaani byongerako olunyiriri 19: “Bangi abeekitiibwa era abatutumufu. Naye ebyama bya Katonda bimanyibwa beetoowaze.” Naye mu Lwebureeyi: “Katonda wa kisa nnyo era ebyama bye abimanyisa abeetowaze.”#Laba ne Baf 2:3 20Newaakubadde Mukama wa buyinza, naye akkiriza ekitiibwa abeetowaze kye bamuwa. 21Tononoozanga bikusukkiridde, era tobuulirizanga by'otosobola kutegeera. 22Lowoozanga bulijjo ku ebyo Katonda bye yakulagira, era teweeraliikiriranga ebyo ebitakumanyisiddwa.#Laba ne Ma 29:29 23Tekikwetaagisa kunonooza bitakulagiddwa, ate nga n'ebikulagiddwa bisukkiridde ku ebyo omuntu by'ayinza okutegeera. 24Bangi abaawubisibwa ebirowoozo byabwe, endowooza yaabwe enkyamu n'ekyamya ennamula yaabwe.
25Bw'oba tolina maaso toyinza kulaba. Bw'oba nga tomanyi, teweeyita amanyi. 26Omutima omukakanyavu oluvannyuma guvaamu omutawaana. Ayagala akabi alikafiiramu. 27Ow'omutima omukakanyavu alifa obuyinike. Omwonoonyi alyongera ebibi ku bibi. 28Abeekulumbaza teri kiribawonya kubonaabona, kubanga ekibi kiba kisimbye emirandira mu bo. 29Omugezi mu ngero ayigiramu bingi. Assaayo omwoyo okuwuliriza, kubanga ayagala okuyiga.
Okugabira abaavu
30Okugabira abaavu kusonyiyisa ebibi, ng'amazzi bwe gazikiriza omuliro ogubuubuuka. 31Oyo akolera abalala eby'ekisa aba alowooza ku by'omu maaso, kubanga aliyambibwa ng'agudde mu buzibu.